ANTI SSENTE! Kyaddaki Palamenti eyongezaayo okulonda mu ggwanga lwa Covid-19, abantu banyivu

©GALAXY

Palamenti mu ggwanga erya Ethiopia ekaanyiza ne bongezaayo okulonda okumala omwaka mulamba, nga kikoleddwa okutangira Covid-19 okusasaana. Okusinzira ku Palamenti, omwaka omulamba gwatandiise okubalibwa nga 11, omwezi guno Ogwomwenda era bannansi balina okulonda abakulembeze baabwe omwezi Ogwomwenda omwaka ogujja ogwa 2021. Mu Palamenti eyatudde akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, omubaka omu yekka, yawakanyizza eby’okwongezaayo okulonda ate 8 […]


Palamenti mu ggwanga erya Ethiopia ekaanyiza ne bongezaayo okulonda okumala omwaka mulamba, nga kikoleddwa okutangira Covid-19 okusasaana.

Okusinzira ku Palamenti, omwaka omulamba gwatandiise okubalibwa nga 11, omwezi guno Ogwomwenda era bannansi balina okulonda abakulembeze baabwe omwezi Ogwomwenda omwaka ogujja ogwa 2021.

Mu Palamenti eyatudde akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, omubaka omu yekka, yawakanyizza eby’okwongezaayo okulonda ate 8 tebaalonze.

Palamenti egamba nti, tebayinza kutwala bannansi mu kulonda nga bangi bayinza okulwala ate nga obusoobozi obulwanyisa obulwadde, bukyali bukyali butono ddala.

Mu Africa, Ethiopia y’emu ku nsi ezikoseddwa ennyo Covid-19 nga yakafuna abalwadde 70,422, ate yakafiisa abantu 1,127 nga mu nsi yonna ekwata kya 48.

Mu nsi yonna, Covid yakatta abantu 975,979 ate abalwadde 31,813,828.