AUDIO! Minisitule y’ebyenjigiriza efulumizza obukwakulizo obukakali ku bayizi ba P7, S4 ne S6, omunaku waakufa

©GALAXY

114SharesMinisitule y’ebyenjigiriza n’emizannyo efulumizza okulabula okuggya eri abayizi abageenda okudda ku massomero mu kibiina eky’omusanvu (P7), S4, S6 ne kumatendekero agaawaggulu, abali mwaka ogusembayo, abageenda okuddayo nga 15, omwezi ogujja Ogwekkumi. Mu ntekateeka efulumiziddwa, abayizi tebalina kweyambisa ntambula ya lukale omuli Takisi, bodaboda n’emmotoka ez’amasomero. Okusinzira ku Alex Kakooza, ateekerateekera Minisitule y’ebyenjigiriza, abayizi basobola okutambula […]


Minisitule y’ebyenjigiriza n’emizannyo efulumizza okulabula okuggya eri abayizi abageenda okudda ku massomero mu kibiina eky’omusanvu (P7), S4, S6 ne kumatendekero agaawaggulu, abali mwaka ogusembayo, abageenda okuddayo nga 15, omwezi ogujja Ogwekkumi.

Mu ntekateeka efulumiziddwa, abayizi tebalina kweyambisa ntambula ya lukale omuli Takisi, bodaboda n’emmotoka ez’amasomero.

Okusinzira ku Alex Kakooza, ateekerateekera Minisitule y’ebyenjigiriza, abayizi basobola okutambula oba okweyambisa emmotoka z’obwannanyini.

Kakooza agamba kyakuyamba nnyo okwetangira Covid-19, okusinga okweyambisa entambula y’olukale.

Mu ntekateeka endala, abayizi balina okwambala masiki nga bali ku massomero, okunaaba mu ngalo, okwewa amabaanga, Pareedi ziwereddwa, abalina abayizi abangi okusomesa mu mpalo, amasomero agalina ebifo okweyambisa wansi w’emiti oba weema.

Ate Gavumenti esuubiza okuwa abayizi masiki bbiri (2) buli omu n’okutekateeka abasomesa okubakera Covid n’okusingira ddala, abali mu bitundu ebisinze okukosebwa omuli Kampala.

Eddoboozi lya Kakooza