GIWUNYE! City Rat, City Dog ne banne bakwattiddwa mu Kampala, boolekedde okuvundira mu kkomera lwa ngalo mpanvu

©GALAXY

Poliisi mu Kampala ekoze ekikwekweeto, mwekwatidde abantu 15, abaludde nga benyigira mu kunyakula amassimu, amasaawa, okukwata mu nsawo eri abasuubuzi ssaako n’abatambuze. Abakwattiddwa, bagiddwa ku Kalungi plaza mu Kampala ssaako ne Galiraya okuli abeeyita City Rat, City Dog, Hassan n’abalala era bonna, batwaliddwa ku kitebe kya Poliisi mu Kampala ekya CPS. Patrick Onyango, omwogezi wa […]


Poliisi mu Kampala ekoze ekikwekweeto, mwekwatidde abantu 15, abaludde nga benyigira mu kunyakula amassimu, amasaawa, okukwata mu nsawo eri abasuubuzi ssaako n’abatambuze.

Abakwattiddwa, bagiddwa ku Kalungi plaza mu Kampala ssaako ne Galiraya okuli abeeyita City Rat, City Dog, Hassan n’abalala era bonna, batwaliddwa ku kitebe kya Poliisi mu Kampala ekya CPS.

Patrick Onyango, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agambye nti abakwate baguddwako emisango gya bubbi era essaawa yonna, bakutwalibwa mu kkooti.

Onyango agamba nti ebikwekweeto ku babbi bonna abatigomya Kampala, bikyagenda mu maaso.