TWESABIRE NNYO! Ebya Uganda sibirungi, Coronavirus yeyongedde mu Kampala, abafudde baweze 71

©GALAXY

Uganda eyingidde abantu 71 abaakafa Covid-19, ekyongedde okutiisa abakulembeze ssaako n’abasawo abali ku ddiimu ly’okulwanyisa ekirwadde. Okusinzira ku alizaati ezifulumiziddwa, ezakebeddwa olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna nga 24, September, 2020, Uganda yazudde abantu 154 abalwadde ne baweza abalwadde 7,218 nga ku bo, 3,611 basiibuddwa nga bajanjabiddwa. Omuntu omu yafudde Covid-19, kwe kuweza omuwendo gw’abaakafa 71. Ku […]


Uganda eyingidde abantu 71 abaakafa Covid-19, ekyongedde okutiisa abakulembeze ssaako n’abasawo abali ku ddiimu ly’okulwanyisa ekirwadde.
Okusinzira ku alizaati ezifulumiziddwa, ezakebeddwa olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna nga 24, September, 2020, Uganda yazudde abantu 154 abalwadde ne baweza abalwadde 7,218 nga ku bo, 3,611 basiibuddwa nga bajanjabiddwa.
Omuntu omu yafudde Covid-19, kwe kuweza omuwendo gw’abaakafa 71.
Ku bantu 154 abazuuliddwa nga balwadde Kampala (45),
Amudat (22),
Mukono (20),
Mbale (10),
Lamwo (8),
Wakiso (6),
Luwero (4),
Amuru (3),
Gulu (3),
Bunyangabu (2),
Dokolo (3),
Jinja (2),
Kapchorwa (3),
Agago (1),
Buikwe (1),
Bukedea (1) ne
Omoro (1)