Minisita y’ebyenjigiriza n’ebyemizannyo eragidde abayizi abali mu kibiina eky’omusanvu (P7), S4 ne S6 abali embutto okudda ku massomero okufundikira ebigezo byabwe. Abayizi baakudda ku massomero omwezi ogujja ogwe kkumi nga 15, okusoma ttaamu ey’okubiri. Wabula okusinzira kw’alipoota ya Poliisi, okuva omukulembeze w’eggwanga lwe yaggala amasomero mu Gwokusatu ng’emu ku ngeri y’okutangira Covid-19 okutuusa omwezi Ogwomusanvu, […]
Minisita y’ebyenjigiriza n’ebyemizannyo eragidde abayizi abali mu kibiina eky’omusanvu (P7), S4 ne S6 abali embutto okudda ku massomero okufundikira ebigezo byabwe.
Abayizi baakudda ku massomero omwezi ogujja ogwe kkumi nga 15, okusoma ttaamu ey’okubiri.
Wabula okusinzira kw’alipoota ya Poliisi, okuva omukulembeze w’eggwanga lwe yaggala amasomero mu Gwokusatu ng’emu ku ngeri y’okutangira Covid-19 okutuusa omwezi Ogwomusanvu, abayizi 21,000 batyoboddwa eddembe lyabwe omuli okubasobyako nga mulimu n’abatikiddwa embutto.
Wabula okusinzira ku Cleophas Mugenyi, Kaminsona mu Minisitule y’ebyenjigiriza, abaana abawala abali embutto bawereddwa omukisa Ogwokubiri okudda ku massomero, okufundikira emisomo gyabwe.
Mugenyi agamba nti abakulu, ku massomero basabiddwa okuyambako abayizi abali embutto okubabudabuda, okusigala nga bali mu ssanyu ku massomero n’okuteekawo embeera obutasosolwa bayizi banaabwe.
Ate Delphine Tumusiime Mugisha, akulembera ekibiina ky’obwanakyewa ekikola ku ddembe ly’abaana ekya Raising Voice, asabye abazadde okusigala nga bakakamu, okuwa omukisa abaana baabwe abatikiddwa embutto okudda ku massomero.
Tumusiime agamba nti abaana abali embutto okubakkiriza okudda ku massomero, abazadde bafunye omukisa ogwokubiri, abayizi okufundikira emisomo gyabwe, kwe kusaba n’amassomero okubaaniriza.