KIWEDDE! John pompe Magufuli alayiziddwa ku bukulembeze bwe Tanzania, alangiridde ekiddako mu bukambwe

©GALAXY

Omukulembeze w’eggwanga erya Tanzania John Magufuli alayiziddwa okuddamu okwata enkasi okulembera eggwanga eryo ekisanja eky’okubiri. Omukolo, kubadde mu kisaawe mu kibuga Dodoma nga gwetabiddwako abakulembeze abasukka 12 ssaako n’abakungu okuva mu kibiina ky’amawanga amagate. Magufuli yawangudde abantu 14 ku bukulembeze bw’eggwanga erya Tanzania n’ebitundu 84 ku 100 wabula Tundu Lissu eyakutte eky’okubiri n’ebitundu 13 ku […]


Omukulembeze w’eggwanga erya Tanzania John Magufuli alayiziddwa okuddamu okwata enkasi okulembera eggwanga eryo ekisanja eky’okubiri.

Omukolo, kubadde mu kisaawe mu kibuga Dodoma nga gwetabiddwako abakulembeze abasukka 12 ssaako n’abakungu okuva mu kibiina ky’amawanga amagate.

Magufuli yawangudde abantu 14 ku bukulembeze bw’eggwanga erya Tanzania n’ebitundu 84 ku 100 wabula Tundu Lissu eyakutte eky’okubiri n’ebitundu 13 ku 100 ebyavudde mu kulonda, yabigaanye.

Akakiiko k’ebyokulonda kagamba nti okulonda kwabadde kw’amazima n’obwenkanya.

Wabula Magufuli alabudde abasuubira okutabangula eggwanga okweddako kuba tewali gwe bageenda kuttira ku liiso.