ANTI WAAYA! Pasita akwattiddwa ku by’okusobya ku baana abato, ow’e 13 akubye omulanga mu maaso ga nnyina olw’obulumi

©GALAXY

Poliisi eyongedde amaanyi mu kunoonyereza ku Pasita eyakwattiddwa ku misango gy’okusobya ku baana abato nga bonna baluganda ssaako n’okubatikka embuto. Pasita Ebenezer Ajigbotoluwa ali mu gy’obukulu 60 y’omu ku basumba abakulembera ekkanisa ya Church of Lord mu ssaza lye Ogun, yeyakwatiddwa. Pasita Ebenezer abadde asobya ku baana okuli owe 16 ne 13 mu kkanisa oluvanyuma […]


Poliisi eyongedde amaanyi mu kunoonyereza ku Pasita eyakwattiddwa ku misango gy’okusobya ku baana abato nga bonna baluganda ssaako n’okubatikka embuto.

Pasita Ebenezer Ajigbotoluwa ali mu gy’obukulu 60 y’omu ku basumba abakulembera ekkanisa ya Church of Lord mu ssaza lye Ogun, yeyakwatiddwa.

Pasita Ebenezer abadde asobya ku baana okuli owe 16 ne 13 mu kkanisa oluvanyuma lwa nnyabwe okusenguka awaka okudda mu kkanisa okumusabira ebizibu ebirudde nga bimutawanya.

Wabula abaana bonna ku myaka emito, baakebeddwa nga bali embuto era Pasita yabadde agezaako okudduka, maama yakubye omulaanga Pasita nakwattibwa.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ssaza lye Ogun Abimbola Oyeyemi, Pasita Ebenezer agambye nti yabadde agezaako okusabira abaana okubataasa endwadde wabula okusula mu kkanisa nga beetema sipeeya mu maaso y’emu ku nsonga lwaki yabasobezaako.

Ate abaana wadde amannya gasirikiddwa, bagambye nti Pasita abadde yabasuubiza okubasindikira emizimu singa bategezaako omuntu yenna era okubasobyako, abadde abatwala mu offiisi ye kkanisa ne mu kinabiro nga bagenze okunaaba akawungeezi mu kiseera nga nnyabwe agenze ku mirimu, okunoonya ssente z’okulya.