AUDIO ENKAMBWE! Bobi Wine akubye abavubuka akaama, awadde ensonga 5 lwaki 2021 balina okumulonda ku bwa Pulezidenti

©GALAXY

Pulezidenti wekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) agamba nti 2021 singa alondebwa ku bukulembeze bw’eggwanga, alina okulongoosa embeera za Bannayuganda. Bobi agamba nti bannayuganda balina okweyambisa omukisa guno mu kulonda kwa 2021, okusalawo omuntu omutuufu alina okutwala eggwanga mu maaso. Bw’abadde asaba abantu akalulu mu paaka ya bbaasi mu disitulikiti y’e Pader, Bobi […]


Pulezidenti wekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) agamba nti 2021 singa alondebwa ku bukulembeze bw’eggwanga, alina okulongoosa embeera za Bannayuganda.
Bobi agamba nti bannayuganda balina okweyambisa omukisa guno mu kulonda kwa 2021, okusalawo omuntu omutuufu alina okutwala eggwanga mu maaso.


Bw’abadde asaba abantu akalulu mu paaka ya bbaasi mu disitulikiti y’e Pader, Bobi agambye nti singa akwata obuyinza, alina entekateeka okutondawo emirimu obukadde 5, ekiwadde abavubuka essanyu.


Mungeri y’emu agambye nti ye muntu omutuufu mu kiseera kino okulongoosa ebyobulamu, ebyenjigiriza, okutumbula ebyenfuna mu maka, okulwanyisa ekibba ttaka asabye bannayuganda okweyambisa akalulu kaabwe okusalawo ku mbeera y’eggwanga lyabwe.
Bobi Wine akubye abavubuka akaama nti okukyusa obulamu, balina kukyusa buyinza mu kulonda kwa 2021 nga bayita mu kalulu.

Eddoboozi