Ssemaka Noah Kyeyune ali mu gy’obukulu 38 asindikiddwa mu kkomera okusibwa emyaka 20 ku misango gy’okusobya ku mwana omuto myaka 11 ku kyalo kye Zana mu Monisipaali y’e Makindye-Ssabagabo. Okusinzira ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Joan Keko nga 24, November, 2018, Kyeyune, eyali omufumbi w’emmere ku ssomero lya Pulayimale eri abayizi abaali basula ku ssomero, […]
Ssemaka Noah Kyeyune ali mu gy’obukulu 38 asindikiddwa mu kkomera okusibwa emyaka 20 ku misango gy’okusobya ku mwana omuto myaka 11 ku kyalo kye Zana mu Monisipaali y’e Makindye-Ssabagabo.
Okusinzira ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Joan Keko nga 24, November, 2018, Kyeyune, eyali omufumbi w’emmere ku ssomero lya Pulayimale eri abayizi abaali basula ku ssomero, yasobya ku mwana, nga yamutwala mu fumbiro.
Omulamuzi wa kkooti enkulu etudde Entebbe Wilson Kwesiga asinzidde ku bujjulizi obuleeteddwa Kyeyune, okumusiba emyaka 20 olw’okudda ku mwana gwe yali alina okuwa emmere n’obukuumi ate okumusobyako.
Omulamuzi y’omu era agambye nti omwaka Kyeyune gwakulungudde ku limanda gusaliddwako, nga mu kkomera wakumalayo emyaka 19.