Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda Dr. Stephen Kaziimba Mugalu alabudde ku bulabe Uganda bweyolekedde olw’abantu okulagajjala mu kulwanyisa Covid-19. Uganda mu kiseera kino erina abalwadde 14,993 nga yakafiisa abantu 139 ate abasiibuddwa nga bajanjabiddwa bali 7,939. Wabula Ssaabalabirizi Dr. Mugalu agamba nti ebigenda mu maaso mu ggwanga omuli Kampeyini ezitandiise ng’abantu bakuba enkungaana, tewali kwambala masiki, […]
Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda Dr. Stephen Kaziimba Mugalu alabudde ku bulabe Uganda bweyolekedde olw’abantu okulagajjala mu kulwanyisa Covid-19.
Uganda mu kiseera kino erina abalwadde 14,993 nga yakafiisa abantu 139 ate abasiibuddwa nga bajanjabiddwa bali 7,939.
Wabula Ssaabalabirizi Dr. Mugalu agamba nti ebigenda mu maaso mu ggwanga omuli Kampeyini ezitandiise ng’abantu bakuba enkungaana, tewali kwambala masiki, okunaaba mu ngalo, kyongedde okuteeka obulabe mu bannansi.

Ssaabalabirizi okulabula abadde akwasibwa ebirabo, ebimukwasiddwa aba Protestant Medical Bureau ebiyambako mu kutangira Covid-19 omuli masiki, Sanitayiza, obumundu obukebera ebbugumu n’ebintu ebirala.
Wabula okusinzira ku minisita omubeezi ow’ebyobulamu Robinah Nabanja, Gavumenti tegenda kuddamu kuziika muntu yenna afudde Covid-19.
Minisita Nabanja agamba nti omuntu yenna afudde Covid-19, wakuzikiibwa famire era abantu balina okwongera okwekuuma.