Nga tusemberedde okulonda kwa bonna nga 14, Omwezi guno ogwa Janwali, abavubuka basabiddwa okwewala okwenyigira mu mbeera yonna, eyinza okutabangula eggwanga. Okusinzira ku Mulabirizi we Luweero Eridard Kironde Nsubuga, omuntu yenna okwenyigira mu kutabangula eggwanga lino, kigenda kufiiriza abaana bangi, okulemwa okuddayo ku massomero. Omulabirizi Nsubuga agamba nti okwetangira okufa, okuyuwa omusaayi ssaako n’okutangira abantu […]
Nga tusemberedde okulonda kwa bonna nga 14, Omwezi guno ogwa Janwali, abavubuka basabiddwa okwewala okwenyigira mu mbeera yonna, eyinza okutabangula eggwanga.
Okusinzira ku Mulabirizi we Luweero Eridard Kironde Nsubuga, omuntu yenna okwenyigira mu kutabangula eggwanga lino, kigenda kufiiriza abaana bangi, okulemwa okuddayo ku massomero.

Omulabirizi Nsubuga agamba nti okwetangira okufa, okuyuwa omusaayi ssaako n’okutangira abantu okulemala, effujjo lyona omuli okwekalakaasa, okuziba amakkubo, okwokya ebipiira, abavubuka balina okubyewala.
Omulabirizi Nsubuga asinzidde mu Tawuni Kanso y’e Luweero ku kkanisa ya St Mark, okusaba abavubuka okwewala okaabya abazadde amaziga singa battibwa oba okutuusibwako obulabe mu kaseera kano akasembedde, ak’okulonda abakulembeze mu ggwanga.
Bishop Nsubuga
Ate Fredrick Makaire, omu ku besimbyewo ng’omubaka wa Palamenti e Katikamu North agamba nti abakulu abanaakulemberamu okulonda okukyusa ebinaava mu kulonda, kyekiyinza okuvaako okutabangula eggwanga.