195SharesAbantu 4 bafiiridde mu kabenje k’emmotoka etambuza amafuta ku luguudo oluva Fort Portal okudda e Kasese. Akabenje kabaddewo ku ssaawa nga 6 mu katawuni k’e Kasunganyanja mu ggoombolola y’e Kibiito mu disitulikiti y’e Bunyangabu. Ekimotoka ky’amafuta ekibadde kigenda e Kasese kitomedde emmotoka y’ekika kya kanta ebadde etwala amatooke e Fort Portal. Okusinzira ku batuuze, ddereeva […]
Abantu 4 bafiiridde mu kabenje k’emmotoka etambuza amafuta ku luguudo oluva Fort Portal okudda e Kasese.
Akabenje kabaddewo ku ssaawa nga 6 mu katawuni k’e Kasunganyanja mu ggoombolola y’e Kibiito mu disitulikiti y’e Bunyangabu.
Ekimotoka ky’amafuta ekibadde kigenda e Kasese kitomedde emmotoka y’ekika kya kanta ebadde etwala amatooke e Fort Portal.
Okusinzira ku batuuze, ddereeva w’ekimotoka ky’amafuta, emmotoka emulemeredde kwe kuyingirira Kanta era zonna ne zikwata omuliro.
Abafudde, bayidde nnyo nga kizibu nnyo okubategeera.
Vincent Twesige, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Rwenzori agamba nti Poliisi etandiise okunoonyereza okuzuula ekituufu ekivuddeko akabenje ssaako n’ebikwata ku bantu abafudde.