KIWEDDE! Wuuno ssemaka attiddwa mu bukambwe, Poliisi ekutte 3 babitebye

©GALAXY

Ronald Katumwa abadde mutuuze ku kyalo Kyangwe mu Tawuni Kanso y'e Kinoni mu disitulikiti y'e Lwengo yasangiddwa ng'attiddwa mu bukambwe.


Poliisi ekutte abantu 3 ku misango gy’okutta ssemaka ali mu gy’obukulu 50 mu disitulikiti y’e Lwengo.

Ronald Katumwa abadde mutuuze ku kyalo Kyangwe mu Tawuni Kanso y’e Kinoni mu disitulikiti y’e Lwengo yasangiddwa ng’attiddwa.

Katumwa yakomwa okulabwako sabiiti ewedde akawungeezi k’olunnaku Olwokutaano, okutuusa omulambo gwe wegusangiddwa nga gusuuliddwa mu bitooke.

Amangu ddala Poliisi eyitiddwa era omulambo gugiddwawo, ne gutwalibwa mu ddwaaliro ekkulu e Kyazanga okwekebejjebwa.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo (Greater Masaka), Muhammad Nsubuga, omulambo gusangiddwako ebiwundu ku mutwe, obulago ssaako ne ku mikono.

Nsubuga agamba nti bakutte abantu basatu (3) omuli ne nnanyini bbaala, Omugenzi webaakoma okumulabako, okuyambako mu kunoonyereza wadde agaanye okwatuukiriza amannya gaabwe.

Poliisi egamba nti mu bbanga lya myezi 5, Katumwa awezeza omuwendo gw’abantu 5 abattiddwa.