NAYE LWAKI! Yiino Kkampuni ebadde enywese abantu omusulo gw’abakyala ekiguddeko, Gavumenti ebiyingiddemu

©GALAXY

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku ddagala e Tanzania kitandiise okunoonyereza kun Kkampuni ebadde agula omusulo gw'abakyala abali embutto.


Ekitongole ekivunaanyizibwa ku ddagala ekya mu ggwanga erya Tanzania kitandiise okunoonyereza kun Kkampuni ebadde agula omusulo gw’abakyala abali embutto.

Kkampuni emanyikiddwa nga Polai (Tz) Co Ltd ebadde egula omusulo gw’abakyala abali embutto era mbu ebadde ogweyambisa okufulumya eddagala ly’abakyala abalina obuzibu mu kufuna embutto.

Kigambibwa baludde nga bagula omusulo mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo ate ku bbeeyi eyawaggulu nga n’abakyala abetaaga eddagala lyabwe, okufuna embutto, bagibwako ssente mpitirivu.

Wabula ab’ekitongole ky’eddagala ekya Tanzania Medicines and Drugs Authority (TMDA) bagamba nti balina okunoonyereza ku Kkampuni eyo ku misango gy’okunyweza abantu omusulo.

Mungeri y’emu agambye nti okunoonyereza, kulaga nti tewali ddagala lyonna eriyinza okuva musulo gw’omuntu yenna era singa kizuulibwa nti Kkampuni eyo ebadde egula omusulo gw’abakyala, tewali kubattira ku liiso, bagenda kubatwala mu kkooti.