Bobi Wine abotodde ekyama, alidde 'Wire' mu Palamenti, atabukidde Gavumenti ya Pulezidenti Museveni ku ky'okuwamba abawagizi be n'okusibwa
Bobi Wine abotodde ekyama, alidde Wire mu Palamenti!
Abamu ku batuuze mu disitulikiti y’e Kyotera bawanjagidde Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) okutaasa abantu baabwe, abazze bakwatibwa, ebitongole ebikuuma ddembe.
Abali maziga, batuuze mu ggombolola y’e Kasaali mu Tawuni Kanso y’e Kyotera nga banoonya banaabwe abasukka 10.
Wakati mu kulukusa amaziga, banokoddeyo abamu abantu abatwalibwa omuli John Kiwanuka, Vincent Muwonge Lubega, Shafik Nyombi, Ronald Muwonge, Mahad Mukasa, Ronald Kawuki.
Abalala kuliko Fahad Kasinga, Sulait Kyambadde, Ivan Kawenja, Emmanuel Ssegirinya, Frank Lusembo ne Derrick Ssebugenye nga batwalibwa, nga tusemberedde okulonda omukulembeze w’eggwanga lino mu kulonda okuwedde nga 14, Janwali, 2021.
Phiona Namulindwa omu ku bali maziga, agamba nti bakoze buli kimu okunoonya abantu babwe balemeddwa ate ne ‘List’ eyafulumiziddwa Minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga Gen Jeje Odongo ku bantu abali mu mikoni gyabwe, abantu baabwe, tebaabaddeko.
Mungeri y’emu agambye nti abantu baabwe okuwagira Kyagulanyi ku bukulembeze bw’eggwanga y’omu ku nsonga lwaki baatwalibwa.
Ate Patricia Nabikindu, agamba nti mukulu we yatwalibwa era mu kiseera kino famire yonna esobeddwa.
Agamba nti bukya atwalibwa, basiiba ku mwenge okuwumuza ku birowoozo ssaako n’okufuna otulo.
Nabikindu
Ku nsonga z’abantu abazze abatwalibwa, mu Palamenti akawungeezi ka leero, ebadde akubirizibwa sipiika Rebacca Kadaga, Pulezidenti w’ekibiina ki NUP era omubaka we Kyadondo East, Kyagulanyi Ssentamu ayanjulidde Palamenti ekiwandiiko, omuteekeddwa okwemulugunya kwe.
Kyagulanyi anokoddeyo ensonga y’abantu abawambibwa ebitongole ebikuuma ddembe, abakwatibwa, abatulugunyiziddwa ssaako n’abo abazze battibwa.
Olunnaku olwaleero, gwe mulundi gwe ogusoose okuteesa ku nsonga ezigenda mu maaso mu ggwanga oluvanyuma lw’okuvuganya ku bukulembeze bw’eggwanga mu kulonda okuwedde ogwa 14, Janwali, 2021.
Mu kiwandiiko, anokoddeyo ensonga endala omuli okutwala abantu babuligyo mu kkooti z’amaggye, okulawa abawagizi be, okusibira abantu mu nkambi z’amaggye ssaako n’okubagyamu amaaso.
Kyagulanyi
Mungeri y’emu agambye nti, waliwo abakyala abasobezeddwako nga batwaliddwa ebitongole ebikuuma ddembe ssaako n’abamu okuttibwa.
Kyagulanyi mu Palamenti ebadde esirikiridde alidde ‘Wire’, asabye Sipiika okulagira Gavumenti okuyimbula abantu bonna abazze bakwattibwa olw’ebyobufuzi, okomya okutwala abantu babuligyo mu kkooti z’amaggye ssaako n’abo abazze bawambibwa.
Ate sipiika Kadaga agumiza Kyagulanyi nti ensonga ze, Palamenti ezifunye bulungi ddala era agambye nti akakiiko akalondola eddembe ly’obuntu, kali mu kuzinonyerezaako.