BAMBI! Omukyala abadde aleekanira mu kaboozi, ‘kkoona daddy awoo’, akiguddeko, tasimattuse

©GALAXY

BAMBI! Omukyala abadde aleekanira mu kaboozi, 'kkoona daddy awoo', akiguddeko, tasimattuse. Mukyala mukulu Kyalimpa amusse mu bukamwe.


Omukyala abadde aleekanira muggya we mu kaboozi, ‘kkoona daddy awoo’, akiguddeko, tasimattuse anti kaboozi!

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Kakayo mu ggoombolola y’e Kasambya mu disitulikiti y’e Kakumiro, omukyala bw’asse muggya we nga kivudde ku nsonga z’abakoozi.

Omukyala aliira ku nsiko mu kiseera kino ategerekeseeko erya Kyalimpa akutte embazzi natematema muggya we Catherine Atuhaire myaka 26, ku mutwe era amuttiddewo.

Okusinzira ku batuuze, Ssemaka Emmanuel Twamuhebwa yawasa abakyala bombi nabateeka mu nnyumba emu, era nga buli mukyala, abadde alina ekisenge kye.

Wabula mukyala mukulu Kyalimpa abadde alumiriza mukyala muto Atuhaire, kati omugenzi, nti abadde asukkiridde okwefunza omusajja nga buli kiro asula mu kisenge kye ate mu ssaawa z’okusinda omukwano, abadde asukkiridde okuwogana n’okuyimba obuyimba mu ngeri y’okulumya.

Kyalimpa mu ngeri y’emu agamba nti mukyala muto, yamulangidde okunyogoga ebintu by’kyama nga y’emu ku nsonga lwaki, omusajja abadde amuwa ennaku ntono, ez’okusula mu kisenge kye.

Wabula Julius Hakiza, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Albertine agamba nti omulambo gwa Atuhaire gugiddwa ku kitaba ky’omusaayi ne gutwalibwa mu ggwanika ly’eddwaaliro ekkulu Kakumiro okwekebejjebwa nga ne Poliisi bw’enoonya kalibutemu Kyalimpa ku misango gy’okutta omuntu.

Munnakibiina ki National Resistance Movement (NRM) eyali yesimbyewo ku bwa meeya bw’ekibuga Masaka Willis Mbabazi Bamwesigye akwattiddwa ku misango gy’okubba emmotoka.

Okusinzira ku Poliisi, Mbabazi abadde apangisa emmotoka okutambuza emirimu gye oluvanyuma ne yekwasa nti emmotoka zibiddwa.

Muhammad Nsubuga, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Masaka, agamba nti Mbabazi yakwatiddwa ng’aliko emmotoka gye yabadde atunda, ekika kya Toyota Premio namba UAS 510S ate nga yagipangisa okuva ku muntu omulala.

Poliisi egamba nti Mbabazi abadde atunda emmotoka zapangisiza nga yefuula nti zibiddwa nga waliwo n’emmotoka endala zeyagamba nti zibiddwa mu kiseera kya Kampeyini ate nga yali azipangisiza era waliwo ebigambibwa nti yazitunda.

Mbabazi ali mu mikono gya Poliisi okuyambako mu kunoonyereza ku misango gy’okutunda emmotoka ezitali zize.

Poliisi egamba nti wadde Mbabazi akwattiddwa, erina okunoonya abantu bonna abamuyambako okutunda emmotoka z’abantu abalala.

Okufuna ebisingawo https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/277440690618599