AUDIO! Bibiino ebigambo bya Ssaabasumba Lwanga ebyasembyeyo nga tannaffa, yakoonye Gavumenti awaluma ku bive ebigenda mu maaso mu ggwanga
Bibiino ebigambo bya Ssaabasumba Lwanga ebyasembyeyo nga tannaffa, yakoonye Gavumenti awaluma ku bive ebigenda mu maaso mu ggwanga
Eggwanga likyakungubaga olw’okufa kwa Ssaabasumba w’Essaza Ekkulu erya Kampala Dr.Cyprian Kizito Lwanga wabula ebibuuzo bikyali bingi ddala ng’abantu bebuuza, ekyaviriddeko omuntu waabwe okufa.
Dr. Cyprian yasangiddwa mu buliri mu makaage e Rubaga olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga ku Makya ku ssaawa nga 3 nga yafiiridde mu buliri.
Oluvanyuma omulambo gwe gwatwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okwekebejjebwa n’okufuna ekituufu, ekyaviriddeko okufa kwe.
Lwaki abantu balina ebibuuzo bingi?
Dr. Cyprian yali mulamu ddala ku lunnaku Olwokutaano era y’omu ku bannadiini abakulembeddemu okutambuza ekkubo ly’omusalaba.
Omugenzi Lwanga nga yegattiddwako Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, Dr. Stephen Kazimba Mugalu, Omulabirizi w’e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira n’abalala, bebetabye mu kutambuza ekkubo ly’omusalaba nga bali mu mbeera nungi ddala.

Okusinzira ku Dr. Kazimba, ku lunnaku Olwokutaano Dr. Cyprian yali yasiibye ng’alina kusibulukuka kawungeezi.
Mungeri y’emu agamba nti Ssaabasumba Lwanga yabadde mulamu ddala nga talinaako wadde ekimuluma era okufa kwe, kulese eddibu eddene n’ebibuuzo bingi.
Abantu bangi basigadde bakyebuuza ekyavuddeko Ssaabasumba Lwanga okufiira mu buliri ate nga yabadde mulamu mu kutambuza ekkubo ly’omusaalaba era kwe kusaba Gavumenti okufulumya alipoota mu bwangu ku kyavuddeko omuntu waabwe okufa.
Ebigambo bya Ssaabasumba Lwanga ebyasembyeyo eri abakkiriza nga tannafa!
Ku lunnaku Olwokutaano, oluvanyuma lw’okutambuza ekkubo ly’omusaalaba, omugenzi Ssaabasumba Lwanga yayogeddeko eri eggwanga era mu bigambo bye, yagambye nti “Kyetusaba ng’abakulembeze b’eddiini kwekulaba nti Katonda yatutonda kukola birungi kwagalana kukuuma bulamu buno, awo no tukubira omulanga abo bonna abakole ebive, obutemu obususse, obulyake, obubbi, okuwayiriza byona ebibi byonna byetumanyi ebigenda mu maaso, ffeena tukyukire mukama waffe Yesu kristo nga tukola ebirungi ng’ate tujjukira amakulu g’omusaalaba, Yesu eyafa nazuukira, atukuze ebirowoozo byaffe, atukuze emitima gyaffe ate wama n’emirimu gyaffe.
Ebikwata ku mugenzi Dr. Lwanga!
Cyprian Kizito Lwanga yazaalibwa nga 19, January, 1953 ku kyalo Kyabakadde mu ggoombolola y’e Naggalama mu disitulikiti y’e Mukono era yafiiridde ku myaka 68.
Yasomerako ku Kyabakadde Primary School ate neyegatta ku Nyenga Seminary mu 1972 ate mu 1974 ku Katigondo National Major Seminary mu disitulikiti y’e Kalungu.
Ebirala ebifa mu ggwanga kuliko https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/1390205114677598