GIWUNYE! State House ebotodde ekyama ku bulamu bwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni, eragidde abamu bakwattibwe babitebye mu bwangu
Amaka g’obwa Pulezidenti (State House) galagidde emikutu gy’empuliziganya egya massimu n’ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’empuliziganya mu ggwanga ekya Uganda Communication Commissions (UCC) okunoonyereza ku bantu abalemeddeko okutambuza amawulire ag’obulimba nti National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni mulwadde nga n’abamu bagamba nti yafudde.
Okuva sabiiti ewedde ebigambo, bibadde biyitingana ku mikutu migatta bantu n’okusingira ddala ogwa Face Book nti Pulezidenti Museveni yatwaliddwa mu ggwanga erya Germany ng’ali mu mbeera mbi, nga yafunye Covid-19 era yabadde alina obuzibu mu kussa.
Abalala nga bagamba nti yatwaliddwa mu ggwanga erya Kenya mu kibuga Nairobi mu ddwaaliro lya Nairobi Hospital nga mulwadde muyi.
Akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri nga 6, July, 2021, Minisita w’amawulire, Tekinologye n’okulugamya eggwanga Dr. Chris Baryomunsi yagambye nti Museveni ali mu mbeera nnungi ddala ng’ali kutambuza mirimu gye nga Pulezidenti.
Pulezidenti Museveni olunnaku olw’eggulo nga yegatiddwako amyuka omukulembeze w’eggwanga erya Kenya William Ruto, batoongoza omulimu gw’okuzimba Fakitole e Matugga mu disitulikiti y’e Wakiso, egenda okukola ku ddagala ly’ebika eby’enjawulo ate ku Mmande nga 5, July, 2021 yakulembeddemu okukubiriza Kabinenti mu State House Entebbe.
Kati no, omuwandiisi wa Pulezidenti Museveni ku nsonga z’amawulire Linda Nabusayi Wamboka agamba nti Pulezidenti Museveni okuteekawo omuggalo ng’emu ku ngeri y’okutangira Covid-19 okusasaana, y’emu ku nsonga lwaki talabika nnyo.

Nabusayi avumiridde abantu bonna abali mu kweyambisa emitimbagano n’okutambuza ebigambo eby’obulimba, nti Museveni mulwadde abamu nga bagamba yafudde.
Agamba nti ebigambo ebyo, byongedde okweralikiriza bannansi, kwe kusaba ebitongole eby’enjawulo n’okusingira ekitongole kya UCC, okunoonya abantu bonna, abali mu kutambuza ebigambo ebyo.
Nabusayi agamba nti Museveni ali mu mbeera nnungi ddala kwe kusaba abantu okwewala ebigambo ebiri mu kutambuzibwa mu mikutu migatta bantu, “The President announced a total lockdown and therefore cut down on his public engagements. Most of his work has been through virtual meetings, radio and televisions. Those creating unnecessary fear and panic among the public by spreading fake news are criminals intent on causing havoc. UCC should investigate social media abuse and take action. He is safe and carrying on his duties scientifically. Tomorrow, virtually, he will be officially opening the commemoration of the African Integration Day in his capacity as the President of Uganda and Champion of Regional Integration in Africa among other meetings. Please don’t believe everything you see or read on social media”.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/1742389205945871