NAYE LWAKI! Eby'okusindikira abantu ssente 100,000 biwanvuye, wuuno Minisita Charles Engola abotodde ekyama 'enkya temusuubira wadde 100'
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku kikula ky’abantu Charles Engola ayongedde okunyika emitima gy’abannayuganda abaludde nga besuunga akasente 100,000 okubayisa mu kaseera kano ak’omuggalo ssaako n’okulaga, okuwudiisa, okuli mu bakulu ba Gavumenti.
Akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, Minisita w’amawulire, Tekinologye n’okulugamya eggwanga Dr. Chris Baryomunsi yagambye nti entekateeka zonna ziwedde, bannayuganda okufuna ku ssente olunnaku olw’enkya.
Dr. Baryomunsi yagumizza eggwanga nti olunnaku olw’enkya ku Lwokuna nga 8, omwezi guno Ogwomusanvu, ku ssaawa 4 ez’okumakya, lwe bagenda okusindika ssente omulundi ogusooka era bangi ku bannayuganda amassimu, batule zijjudde omuliro okulinda ensimbi ku massimu gabwe.
Wabula akawungeezi ka leero, Minisita Engola agamba nti ‘List’ y’abantu abalina okufuna ku ssente tennaba kuteekebwateekebwa.
Agamba nti wezitukidde ssaawa 7 ez’emisana ga leero, nga Minisitule y’ekikula ky’abantu, yakafuna amannya g’abantu emitwalo (6) 60,000 okuva mu Monisipaali ez’enjawulo ate ebibuba omuli Kampala, amannya gabadde gakatuuka.

Minisita ng’ali wamu n’abakungu okuva mu Minisitule y’ekikula ky’abantu, bakedde mu kakiiko ka Palamenti akali ku ddimu ly’okulondoola ensonga za Covid-19 omuli entambuza y’emirimu, bagamba nti betaaga obudde okwekeneenya ‘List’ z’abantu abasindikiddwa okufuna ku ssente omuli amannya, ekikula kyabwe, ennamba z’amassimu, emirimu gye bakola, ebikwata ku ndagamuntu.
Ssentebe w’akakiiko Abdu Katuntu abalemeddeko era abasabye okutangaza eggwanga ddi lwe bagenda okusindika ssente, kwe kutegeeza nti bannayuganda balina okulindako wakiri sabiiti nnamba ng’olunnaku olw’enkya, kiyinza obutasoboka newankubadde Ssaabaminisita Robinah Nabbanja yalangiridde nti ssente, abantu bakuzifuna olunnaku olw’enkya ku Lwokuna.
Wadde entekateeka zikolebwa, okusindikira abantu ssente, ssentebe Katuntu era omubaka we Bugweri alagidde Minisita Engola be banne okuwaayo ‘List’ y’abantu abasunsuddwa, kiyambeko n’abakulembeze mu bitundu ebyo, okulondoola mu bitundu byabwe.
Mu ntekateeka eno, Gavumenti yatekateeka okusasaanya biriyoni 53 ku maka emitwalo 53, ku ssente 100,000 buli maka.
Ate ebitongole ebikuuma ddembe byongedde okwogeza abantu abakwattiddwa ku by’okulumba Minisita w’emirimu Gen. Katumba Wamala.
Abakwate, bagamba nti Gen Katumba bamulondoola ebbanga lya myezi mukaaga (6) okuva mu December, 2020 okutuusa nga 1, omwezi oguwedde Ogwomukaaga, 2021 lwe yakubwa.
Mu kulumba Gen Katumba, e Kisaasi mu Divizoni y’e Nakawa mu Kampala, bamukwatammundu batta muwala we Brendah Nantongo, Ddereeve we Haruna Kayondo ate ye, wadde yasimatuka kyokka yali akubiddwa amasasi mu mikono gyombi.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, abakwate bagamba nti Gen. Katumba yali ku ‘List’ y’abantu abalina okuttibwa.
Mungeri y’emu Poliisi egamba nti abakwate baludde nga bafuna ssente nga ziyitira mu kkampuni ya Western Union era okunoonya abakulu abafuna ssente ezo, kutandikiddewo.
Kigambibwa, Gen. Katumba okutambuza obulungi emirimu gye mu kiseera ng’addumira Poliisi n’amaggye, kiteeberezebwa y’emu ku nsonga lwaki abatujju baali baagala kumusanyawo. Poliisi eremeddeko nti abatujju abalumba Gen. Katumba basibuka mu kabinja k’abatujju aka Allied Democratic Forces (ADF) era mukama waabwe Shiek Obadia yadduse nga mu kiseera kino, ayinza okuba akyali mu Uganda oba nga yaddukidde mu ggwanga lya Congo.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/337064674593901