KIGWANIDDE! Abaakwatibwa ku by’okulumba Gen. Katumba bali mu maziga, ebitundu by’ekyama bitonnya musaayi

©GALAXY

KIGWANIDDE! Abaakwatibwa ku by'okulumba Gen. Katumba bali mu maziga, ebitundu by'ekyama bitonnya musaayi, basindikiddwa mu kkomera e Kitalya


Abantu bataano (5) abaakwatibwa ku by’okulumba Minisita w’emirimu Gen. Katumba Wamala, basimbiddwa mu kkooti y’omulamuzi esookerwako e Nakawa ku misango gy’obutujju ssaako n’obutemu omuli okutta muwala wa Gen. Katumba, Nantongo Brendah ne ddereeva Haruna Kayondo nga 1, omwezi oguwedde Ogwomukaaga.

Mu kkooti, batuusiddwa wakati mu byokwerinda nga bajjudde ebiwundu, enkovu ez’emiggo, ez’omuliro nga bali mu mbeera mbi, batambula bawenyera, nga bekokola emiggo egyabakubiddwa.

Abasimbiddwa mu kkooti y’omulamuzi Dr. Douglas Singiza mwe muli Muhammad Kagugube amanyikiddwa nga Musiramu ng’avuga bodaboda era nga mutuuze mu zzooni y’e Kikaaya, e Kanyanya mu Divizoni y’e Kawempe, Kamada Walusimbi amanyikiddwa nga Mudinka naye avuga bodaboda nga mutuuze mu zzooni y’e Nabweru 2.

Abalala kuliko Siriman Ayuub Kisambira amanyikiddwa nga Mukwasi Koja, mutuuze ku kyalo Kabaganda mu Tawuni Kanso y’e Kasangati mu disitulikiti y’e Wakiso, Abdulaziz Ramathan Dunku –  addabiriza ntebe za mmotoka nga mutuuze we Matugga ssaako ne Habib Ramanthan nga musomesa wa ddiini.

Mu kkooti, bagamba nti baakubwa n’okubatulugunya, okubafumita empiso n’emisumaali, okubookya migongo n’ebintu by’ekyama era baguddwa omusango gumu (1) ogw’obutujju, emisango 2 egy’obutemu n’emisango 2 egy’okwagala okutta abantu.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, abakwate ne banaabwe abakyaliira ku nsiko wakati wa March, 2015 okutuusa omwezi oguwedde ogwomukaaga 2021 mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo abatta abasirikale mu bitongole ebikuuma ddembe omuli Poliisi n’amaggye, abantu babuligyo ssaako n’okulumba Poliisi ez’enjawulo nga kyakolebwa, okutisatiisa abantu, omuli bannadiini, bannabyabufuzi n’okusanyalaza ebyenfuna by’eggwanga.

Abakwate wakati mu kulukusa amaziga nga bagamba nti bafa obulumi, oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Barbara Kyomugisha, lusabye kkooti okwongezaayo omusango nga bakyanoonyereza ku misango gyabwe.

Omulamuzi akkiriza okusaba kw’oludda oluwaabi era bonna basindikiddwa mu kkomera e Kitalya okutuusa nga 3, omwezi ogujja Ogwomunaana era batwaliddwa nga bali maziga.

Wabula bannamateeka baabwe nga bakulembeddwamu Geoffrey Turyamusiima, bagamba nti embeera, abasibe gye balimu yenyamiza nga kiswaza, okusindikibwa mu kkomera mu mbeera gye balimu nga yetaaga okufuna obujanjabi.

Wabula bannamateeka baabwe nga bakulembeddwamu Geoffrey Turyamusiima, bagamba nti embeera abasibe gye balimu yenyamiza nga kiswaza okusindikibwa mu kkomera nga betaaga okufuna obujanjabi.

Mungeri y’emu agamba nti balina okulwana okutuusa nga abakwate bagiddwako emisango.

Ate Sheik Yusuf Siraji Nyanzi ne Hussein Sserubula amanyikiddwa nga Imam Muto, abaasindikibwa ku limanda mu kkomera e Kitalya sabiiti ewedde, n’abo bagatiddwa ku misango egyo era mu kiseera kino abantu musanvu (7) bebali mu kkomera ku by’okulumba Gen. Katumba Wamala n’okutta abantu be.

Ebya Gen. Katumba, tebinaggwa.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/337064674593901