AMAZIGA! Wuuno omuvubuka Vampaya abadde awuuta omusaayi mu baana akwattiddwa, abadde yakatta 10 ate South Africa abafudde baweze 117.
Poliisi e Kenya ekutte omusajja vampaya kanywamusaayi ku misango gy’okutta abaana 13 n’okunywa omusaayi.
Masten Milimo Wanjala myaka 20 yakwattiddwa oluvanyuma lw’okutta abaana babiri (2), emirambo gyabwe nagisuula mu kabira okumpi n’ekibuga Nairobi.
Ku Poliisi, Wanjala akirizza okwenyigira mu kutta abaana omuli n’omwana myaka 10 omu kw’abo abasembyeyo okuttibwa.
Poliisi egamba nti Wanjala abadde anoonyezebwa oluvanyuma lw’abaana okweyongera okubula n’okuttibwa mu bbanga lya sabiiti 2.
Okusinzira ku kitongole ekikola ku by’okunoonyereza, Wanjala, ebikolwa bye byekuusa ku Vampaya omuli okutta abantu, okulembeka omusaayi nagutwala ssaako n’okuluma emisuwa nawuuta omusaayi.

Poliisi egamba nti Wanjala abadde anoonyezebwa oluvanyuma lw’abaana okweyongera okubula n’okuttibwa mu bbanga lya sabiiti 2.
Okusinzira ku kitongole ekikola ku by’okunoonyereza, Wanjala, ebikolwa bye byekuusa ku Vampaya omuli okutta abantu, okulembeka omusaayi nagutwala ssaako n’okuluma emisuwa nagunywa.
Wanjala abadde yegumbulidde okutta abaana wakati w’emyaka 12 – 13 omuli n’okubanyoola ensingo ne battibwa.
Okunoonyereza kulaga nti Wanjala yasookera ku mwana myaka 12 emyaka 5 egiyise mu bitundu bye Machakos.
Abazadde abamu, abadde abakubira amassimu ng’asaba ssente 30,000 eza Kenya kyokka oluvanyuma abaana ne battibwa.
Ate agava mu ggwanga erya South Africa, Gavumenti erangiridde okwongera amaggye ku nguudo okutangira embeera ya bannansi okweyongera okwekalakaasa n’okunyagulula ebyamaguzi mu maduuka.
Abamu ku bannansi mu bitundu bye KwaZulu-Natal ne Gauteng bali mu kwekalakaasa nga bawakanya ekya Jacob Zuma myaka 79 eyali omukulembeze w’eggwanga lyabwe okuva 2009 – 2018 okusibwa.

Mu kiseera kino abantu 117 bebattiddwa ate abasukka mu 2,000 bakwattiddwa ebitongole ebikuuma ddembe.
Wabula Gavumenti egamba nti egenda kwongera amaggye 25,000 ku nguudo, okwongera okunyweza ebyokwerinda.

Kkooti ya Ssemateeka ekulemberwa Omulamuzi Sisi Virginia Khampepe yasalidde Zuma okusibwa emyezi 15 ng’emulanga okuyisa olugaayu mu kakiiko akanoonyereza ku balyake mu South Africa nga kakulirwa Amyuka Ssaabalamuzi Raymond Zondo nga 29, June, 2021.
Mu kwekalakaasa, bannansi batwala ebintu ebyenjawulo omuli okumenya amadduka ne batwala engoye, ssente, eby’okulya n’okunywa, okutwala ATM, okubba ebisolo omuli embizzi n’ebintu ebirala.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/522547672329636