MUWEDDE! Gavumenti eyogedde ku tteeka eriwera abakazi okwamaba mmini n'empale mu lujjude, abakyala balidde obuwuka, lwaki mutulemesa.
Ekibiina ekiri mu buyinza mu ggwanga erya Zimbabwe kiwakanyiza alipoota eyafulumiziddwa nti bali mu ntekateeka okuwera abakyala n’abaana abawala okwambala engoye za Mmini ssaako n’empale nga bali mu lujjude.
Okusinzira ku mwogezi w’ekibiina ki Zanu-PF, Simon Moyo, amawulire agali mu kutambuzibwa ku nsonga y’abakyala okwambala Mmini n’empale gabulimba.
Zanu-PF okuvaayo, kidiridde alipoota, nti Gavumenti eri mu kutekateeka okuleeta etteeka, nga kimenya amateeka omukyala yenna, ali waggulu w’emyaka 16 okwambala empale oba Mmini mu lujjude.
Wabula Moyo agamba nti amawulire agali mu kutambuza gabulimba era kigendereddwamu okusiiga ekibiina kyabwe enziro.
Mungeri y’emu agamba nti ekibiina ky’obwannakyewa ekyafulumizza alipoota kiri wansi w’ekibiina ki Movement For Democratic Change (MDC) ekiri ku ludda oluvuganya, era y’emu ku nsonga lwaki kyegumbulidde okutambuza obulimba.
Wabula abamu ku bakyala bagamba nti Gavumenti yandibadde ewera abakyala okwambala Mmini ssaako n’empale ezibakwata ennyo nga bali mu lujjude kuba y’emu ku nsonga lwaki n’abasajja begumbulidde okubakwata ssaako n’okusobya ku baana.
Abakyala n’okusingira bannadiini bagamba nti abakyala begumbulidde okwambala engoye eziraga enkula y’omukyala yenna nga bwe yakula, nga kino kiviiriddeko okunafuya emitima gy’abasajja.
Wabula waliwo abakyala, abagamba nti wakiri okuddukira mu kkooti, okuwakanya ekya Gavumenti okubalemesa okwambala Mmini ssaako ne Mpale.
Abano nga bakulembeddwamu abakyala abasamba ogw’ensimbi bagamba nti balina okwetunda nga boolesa emmaali, nga singa bateekawo etteeka okubalemesa okwambala Mmini oba empale mu lujjude, abasajja abalamuza emmaali yaabwe, bayinza okukendera.
Ate abasajja abamu, bagamba nti newankubadde waliwo abakyala abasukkiridde okwambala mu ngeri y’okutambuza obuseegu, eky’okulemesa abakyala okwambala Mmini oba empale mu lujjude, kityoboola eddembe ly’obuntu nga buli muntu waddembe okwambala ekimuwa emirembe.
Ate abakulembeze b’eddiini bagamba nti abantu okugwamu ensa, y’emu ku nsonga lwaki okwambala enkunamyo kweyongedde ng’abaana beyongedde okulabira ku bazadde baabwe.
Mu kiseera kino bannansi bakyalinda omukulembeze w’eggwanga lyabwe Emmerson Dambudzo Mnangagwa myaka 78 okuvaayo, okubaako kyayogera ku nsonga ezo, ez’okulemesa abakyala okwambala engoye ennyimpi ssaako n’empale nga bali mu lujjude.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/502181260844844