AFRICA! Pulezidenti Goita awonye okuttibwa ku Eid n’ekyambe, 2 bakwattiddwa babitebye

©GALAXY

Omukulembeze w’eggwanga erya Mali ow’ekiseera Colonel Assimi Goita asimatuse okuttibwa enkya ya leero mu kusaala Eid al-Adha mu kibuga Bamako. Goita myaka 38 abadde ku muzikiti gwe Grande nga yegasse ku baddu ba Allah okusaala, abasajja babiri (2) kwe kumulumba. Wadde abakuumi basobodde okumutaasa, omu ku basajja akebeddwa ng’alina ekyambe. Okusinzira ku kiwandiiko ekivudde mu […]


Omukulembeze w’eggwanga erya Mali ow’ekiseera Colonel Assimi Goita asimatuse okuttibwa enkya ya leero mu kusaala Eid al-Adha mu kibuga Bamako.

Goita myaka 38 abadde ku muzikiti gwe Grande nga yegasse ku baddu ba Allah okusaala, abasajja babiri (2) kwe kumulumba.

Goita mu Blue ng’ali mu kusaala

Wadde abakuumi basobodde okumutaasa, omu ku basajja akebeddwa ng’alina ekyambe.

Okusinzira ku kiwandiiko ekivudde mu maka g’omukulembeze w’eggwanga, Pulezidenti oluvanyuma lw’okusimatuka obulumbaganyi, atwaliddwa mu kitebe ky’amaggye ekiri okumpi n’ekibuga.

Goita ng’asiibula ku bantu

Ekiwandiiko kiraga nti Pulezidenti Goita ali mu mbeera nnungi ddala era okunoonyereza ku basajja abakoze obulumbaganyi kutandikiddewo.

Goita yawamba obuyinza okuva ku Ibrahim Keita mu Gwomunaana, 2020 era yasuubiza okuzaayo obuyinza mu bantu okulonda omukulembeze omwaka ogujja ogwa 2022.