AUDIO! JJajja w'obuyisiraamu Nakibinge atabukidde Gav't ku ky'okusiba abasiraamu ku misango gy'obutujju, alangiridde ekiddako mu bukambwe
Jjajja w’obuyisiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, akangudde ku ddoboozi ku kya Gavumenti, okutigomya abasiraamu ku misango gy’obutujju.
Omulangira Nakibinge agamba nti emyaka egisukka 10, abatujju beyongedde okutigomya eggwanga lino, kyokka bangi ku bakwatiddwa bayisiramu, abali makkomera ag’enjawulo.
Omulangira Nakibinge asinzidde mu makaage e Kibuli oluvanyuma lw’okusaala Eid- Al-Adha era agamba nti, abakwattiddwa okuyimbulwa nga tewali bujjulizi kyongera okutiisa bannansi ssaako n’abaddu ba Allah abakwattibwa ku buli butujju obukolebwa.
Mungeri y’emu awanjagidde ebitongole ebikuuma ddembe n’okusingira Poliisi okukendeza obusuungu ku bannayuganda abanoonya eky’okulya.

Omulangira Nakibinge agamba nti bangi ku bannayuganda bakola mmere ya leero nga singa balemesebwa okutambula okunoonya eky’okulya, bayinza okufiira mu nnyumba.
Omulangira agamba nti abantu abawejjere, obutafuna ssente emitwalo 100,000 eza Gavumenti, y’emu ku nsonga lwaki bakeera kutambula okunoonya eky’okulya n’okuliisa abaana.
Ate Mufti wa Uganda Sheikh Shaban Ramadhan Mubajje, awanjagidde Gavumenti okuddayo ku nkola y’okuyamba abantu eyakozesebwa ku muggalo ogwasooka, okutwalira abantu emmere ku maka gaabwe okusinga okwesigama ku ky’okusindika ssente.

Mubajje agamba nti enkola ya Ssaabaminisita Robinah Nabbanja ey’okusindikira abantu ssente 100,000 ku massimu gaabwe, eremeddwa okuyamba abantu.
Bw’abadde eyogerako eri eggwanga oluvanyuma lw’okusaala Eid- Al-Adha ku muzikiti gwa Kampala mukadde mu ngeri ya ‘Science’, Mufti Mubajje agamba nti ssente zikyagaanye okutuuka mu bantu nga kizibu nnyo okusanga omuntu eyazifunyeko.
Asabye Gavumenti okuddamu okweyambisa abasirikale mu bitongole ebikuuma ddembe (Poliisi n’amaggye) okutwalira abantu emmere okusinga okudda ku ky’okusindikira abantu ssente ezitatuuka.

Mufti Mubajje ayongedde okujjukiza omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni okwongera okuteeka ssente mu byobulamu wakati mu kulwanyisa Covid-19.
Agamba nti mu kiseera kino abasawo betaaga ebikozesebwa ssaako n’okulongoosa embeera gye bakoleramu.
Ate mu disitulikiti y’e Luweero, mu kusaala Eid ku muzikiti gwe Kagombe mu ngeri ya ‘Science’, ‘District Kadhi’ Sheikh Ramadhan Mulindwa atabukidde ebitongole ebikuuma ddembe ku by’okutulugunya abantu abakwattiddwa, abateeberezebwa okwenyigira mu kuzza emisango.
Sheikh Mulindwa anokoddeyo abantu abaatulugunyiziddwa ku misango gy’okulumbagana Gen. Katumba Wamala n’okutta abantu be (muwala wa Gen Katumba, Brenda Nantongo myaka 32 ne Haruna Kayondo eyali ddereeva we) ssaako n’abo abattiddwa ku misango gye gimu.
Agamba eky’okutulugunya abakwate, kivuddeko bangi ku bantu abakwattiddwa okukkiriza emisango olw’okutaasa obulamu.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/502181260844844