EBIFAANANYI! Laba swagga mu kuziika abadde Pulezidenti we Haita Moise, amaggye galaze emmundu

©GALAXY

Eyali Pulezidenti weggwanga erya Hiati Jovenel Moise aziikiddwa mu kitiibwa wakati mu bannansi okubanja alipoota ku ngeri gye yattibwamu. Moise yalumbibwa mu maka ge era n’asasirwa ebyasi ebyamuttirawo ne mukyala we Martine Moise n’asigala n’ebisago eby’amaanyi mu kiro ekyakeesa olwa nga 7, July, 2021. Yaziikiddwa ku Lwokutaano nga 23, July, 2021 wakati mu byokwerinda eby’amaanyi […]


Eyali Pulezidenti weggwanga erya Hiati Jovenel Moise aziikiddwa mu kitiibwa wakati mu bannansi okubanja alipoota ku ngeri gye yattibwamu.

Moise yalumbibwa mu maka ge era n’asasirwa ebyasi ebyamuttirawo ne mukyala we Martine Moise n’asigala n’ebisago eby’amaanyi mu kiro ekyakeesa olwa nga 7, July, 2021.

Yaziikiddwa ku Lwokutaano nga 23, July, 2021 wakati mu byokwerinda eby’amaanyi n’obunkenke obuli mu Haiti olwa Bamukwatammundu abeeyongera okukola effujjo mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.

Okuziika Moise

Moise yaziikiddwa gy’azaalibwa mu kibuga Cap-Haitien ekiri mu Bukiikakkono bw’eggwanga erya Hiati.

Ate omukyala Jovenel Moise wadde yakomyewo okuva mu ggwanga erya America gye yali atwaliddwa oluvanyuma lw’okukubwa amasasi, tali mu mbeera nnungi, ekyali ku bujanjabi n’okukungubagira bba.

Moise 53, yasindirirwa ebyasi ekibinja ekigambibwa nti kya bamaafiya okuva e Colombia kyokka ebinnyonnyola engeri obutemu buno gye bwakolebwamu n’abajambula engeri gye baatuuka ku Moise nga tewali mukuumi gwe basse tennategeerekeka.
Abantu abasukka mu 18 be baakakwatibwa nga kirowoozebwa nti balina akakwate ku kutemulwa kwa Moise era okunoonyereza kukyagenda mu maaso.