AUDIO! Wuuno omusajja akwattiddwa ng’asobya ku mukyala mu nsiiko, awonye emiggo gy’abatuuze

©GALAXY

AUDIO! Wuuno omusajja akwattiddwa ng'asobya ku mukyala mu nsiiko, awonye emiggo gy'abatuuze, Poliisi efunye abakyala 7 okuwa obujjulizi


Poliisi y’e Mukono ekutte omusajja Asumani Owere ku misango gy’okusobya ku bakyala mu kitundu ekyo.

Owere myaka 30 nga mutuuze ku kyalo Kitega mu ggoombolola y’e Kawolo mu disitulikiti y’e Buikwe, yasimatuse okuttibwa abatuuze.

Okusinzira ku Poliisi, Owere musajja avuga bodaboda era atambula n’akambe mu nsawo nga singa afuna omusaabaze nga mukyala ne batuuka mu kifo ekyenzigota, abadde asuubiza okubatta era mu ngeri eyo, abadde abasobyako ssaako n’okutwala ebintu byabwe.

Poliisi egamba nti efunye emisango egisukka musanvu (7) egy’abakyala abasobezeddwako n’okubba ebintu byabwe omuli ensawo, amassimu, ssente enkalu ssaako n’ebintu ebirala.

Owere okukwattibwa, yabadde agezaako, okusobya ku mukyala mu kabira ku kyalo Nakapinyi mu ggoombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono.

Omukyala yakubye enduulu, eyasombodde abatuuze era Owere yakwattiddwa ne bamutwala mu Poliisi.

Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti ku bakyala musanvu (7), babiri (2) balumiriza Omusajja Owere okubasobyako n’okutwala ebintu byabwe era Poliisi etandiise okunoonyereza.

Mungeri y’emu alabudde abakyala okwegendereza abasajja aberimbika mu kuvuga bodaboda naye nga bazzi ba misango.

Eddoboozi lya Luke

Ate aba famire z’abantu abakwattibwa ku by’okulumbagana Minisita w’emirimu Gen. Katumba Wamala ne batta muwala we Nantongo Brendah ssaako ne Ddereeva we Haruna Kayondo, bali mu kutya mu mbeera y’abantu baabwe.

Gen. Katumba yalumbibwa nga 1, Ogwomukaaga, 2021 Kisaasi, Nakawa mu Kampala era abantu munaana (8) bebali ku Limanda mu kkomera e Luzira ne Kitalya ku misango gy’obutujju, Obutemu ssaako n’okwagala okutta abantu.

Gen. Katumba

Enkya ya leero, omulamuzi wa kkooti esookerwako e Nakawa, Romans Ponsiano Odwori, ayongezaayo omusango, okutuusa nga 17, omwezi guno Ogwomunaana, 2021, nga kivudde ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Babrah Ochom, okutegeeza nti bakyanoonyereza nga betaaga okubongera obudde.

Ku basibe 8, 7 bali ku limanda mu kkomera e Luzira omuli Hussein Sserubula, Yusuf Siraji Nyanzi, Muhammad Kagugube amanyikiddwa nga Musiramu, Kamada Walusimbi amanyikiddwa nga Mudinka, Siriman Ayuub Kisambira nga yeeyita Mukwasi Koja.

Abalala kuliko Abdulaziz Ramathan Dunku ne Habib Ramanthan ate Huzaifa Wampa ali ku limanda mu kkomera e Kitalya era ye mu kkooti, talabiseeko olwa tekinologye wa ‘zoom’ okuva e Kitalya obutakola.

Mu kkooti, abavunaanibwa bakiikiriddwa bannamateeka basatu (3) okuli Geoffrey Turyamusiima, Hamza Ssekidde ssaako ne Asuman Basalirwa.

Wabula famire z’abakwate, bagamba nti abantu baabwe, okusindikibwa ku limanda baali bakubiddwa, banyiga biwundu, batonnya musaayi kyokka balemeseddwa okutegeera embeera gye balimu.

Aba famire, bagamba nti okweyambisa enkola ya ‘zoom’, kibalemeseza okulaba ku bantu baabwe era basigadde bali maziga.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/1000250377452867