AUDIO! Laba engeri abakadde gye balemesezza abayizi okudda ku massomero, Museveni ayogedde era alaze ekiddako, Dr. Mugimba agumizza abazadde
Minisitule y’ebyenjigiriza ebotodde ekyama lwaki ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni akyakalambidde ku ky’abaana okudda ku massomero.
Mu kiseera kino ng’abaana bangi bafunye embutto ku myaka emito, abamu benyigidde mu kunywa ebitamiiza omuli enjaga, abamu essuubi liweddewo okudda ku massomero, Muzeeyi Museveni akyagaanye abaana okudda ku massomero olw’okutaasa obulamu.
Okusinzira ku mwogezi wa Minisitule y’ebyenjigiriza Dr. Dennis Mugimba, mu lukiiko olwatudde akawungeezi k’olunnaku Olwokubiri, Museveni yagambye nti abayizi okudda ku massomero, abazadde abakuze myaka balina okubagema.
Museveni agamba nti abayizi okudda ku massomero nga badda awaka, bayinza okutwalira abazadde obulwadde, ekiyinza okubatta.
Ng’asinzira ku Media Centre mu Kampala Dr. Mugimba awanjagidde buli muntu yenna, okutwala abakadde okubagema okuva ku myaka 50 okudda waggulu kuba yengeri yokka, abayizi gye bagenda okudda ku massomero singa bakomekereza okugema abasomesa.
Agamba eky’abakadde okuba nga si bageme, y’emu ku nsonga lwaki omukulembeze w’eggwanga akyagaanye abayizi okudda ku massomero.
Mungeri y’emu agambye nti singa Omutonzi ayamba abaana okudda ku massomero mu kiseera kino eky’okulwanyisa Covid-19, abayizi bonna abaali mu Siniya esooka (S1) bakutwalibwa mu Siniya ey’okubiri (S2) ate abaali Siniya ey’okutaano (S5) batwalibwe mu siniya ey’omukaaga (S6).
Ate Sipiika wa Palamenti Jacob Oulanyah, agambye nti Palamenti, terina kyesobola kukola ku kiseera kino, ku nsonga z’omubaka Muhammad Ssegirinya owe Kawempe North ssaako ne Allan Ssewanyana owe Makindye West, abali mu kkomera.
Ssegirinya ne Ssewanyana, baasindikiddwa ku limanda mu kkomera okutuusa sabiiti ejja ku Lwokusatu, nga 15, omwezi guno Ogwomwenda, 2021 ku misango 4, ng’esatu (3) gya butemu, omusango gumu (1) gwagezaako kutta omuntu, ku kitta bantu ekigenda maaso e Masaka.
Okusinzira ku ludda oluwaabi, omwezi oguwedde Ogwomunaana, 2021, ku kyalo Setaala, Kimanya Kabonera e Masaka, Ssegirinya ne Ssewanyana benyigira mu kutta Sulaiman Kakooza, Michael Kiza Nswa ne Tadeo Kiyimba ate Robert Ssebyato, wadde baamutematema kyokka yasimatukka.
Wabula mu Palamenti ebadde ekubirizibwa sipiika Oulanyah, omubaka we Kiira Ibrahim Ssemujju Nganda asabye Sipiika oba waliwo engeri yonna gyasobola okuyamba Ssegirinya ne Ssewanyana nga ye omukulu, akulembera Palamenti y’eggwanga.
Aulanyah mu kwanukula agambye nti, ensonga zatuuse dda mu kkooti era tewali ngeri yonna Palamenti gyesobola kuyamba Ssegirinya ne Ssewanyana abali ku misango gya nnagomola.
Agamba nti balina okuwa omukisa, kkooti okukola emirimu gyabwe ne Gavumenti okuleeta obujjulizi bw’eba obulina.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/187201736815918