MWEDDEKO! Okufuna olubuto kisinga omuntu okufa, Museveni avuddeyo ku ky'abaana abato okuwaka n'okuzaala ate agumizza eggwanga ku ADF
Ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze we’ggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni akalambidde nti kikafuuwe okumelesa abaana abali embutto okudda ku massomero.
Museveni agamba nti Uganda eyise mu kusoomozebwa okwenjawulo wakati mu kulwanyisa Covid-19, ng’abaana abafunye embuuto ssaako n’abazaala mu kiseera ky’omuggalo, bagwanidde okuweebwa omukisa ogwokubiri okudda ku massomero.
Bw’abadde ku mikolo gya menunula egy’emyeka 36 ku kisaawe e Kololo, Museveni agambye nti mangi ku massomero gakkiriza abantu abakulu okuddayo okusoma nga bazaala dda, nga kiswaza ate okulemesa abaana abato okuddayo okusoma olw’okufuna embuto n’okuzaala ku myaka emito.
Muzeeyi Museveni agambye nti wakusisinkana Bannadiini okwongera okuteesa ku nsonga eyo, wabula mu kiseera kino abaana bonna abali embuto n’abazaala, baddembe okweyambisa amassomero ga Gavumenti mu bitundu byabwe, okuddayo okusoma.
Muzeveni avuddeyo ne ku nsonga y’emikutu gy’amawulire okuva mu nsi z’ebweru abaludde nga batambuza amawulire nti Uganda bangi ku baana abawala bafunye embuto mu kiseera ky’omuggalo. Agamba nti, “emikutu gy’amawulire egy’ensi yonna gisussa akajanja kubanga bulijjo bakuliriza ekya gavumenti ya Uganda okusibira abantu mu muggalo okumala emyaka ebiri naye balina kyebataategeera, kati bogera ku kya bawala kufunira mbuto mu muggalo, naye okubeera olubuto tekisingako okufa?”.
Ate ku nsonga y’okulwanyisa obutujju mu ggwanga, Muzeveni ayongedde ogumya bannayuganda ku ky’okulwanyisa abatujju bakabinja ka ADF.
Museveni agamba nti abatujju ba ADF nsonga ntono nnyo era bonna bagenda kubakolako oluvanyuma lwa Pulezidenti we Congo Felix Tshisekedi, okukiriza okukolagana ne Uganda, okubalwanyisa bonna bakolebweko, “ADF terina kyeri tujja kugimala amaanyi era tetuyinza kutunula butunuzi nga batirimbula baganda baffe ne banyinaffe ab’e Congo, myaka abiri (20) nga batigomya abantu, bakwata abakazi n’okunyagulula ebintu by’abantu ekyo tetugenda kukikiriza era abantu baffe musigale nga muli bagumu”.
Pulezidenti Museveni asiimye bannayuganda okumwanguyizza obukulembeze okuva lweyayingira ensiko n’awamba obuyinza ppaka olwaleero. Agamba bannayuganda okwagala eggwanga lyabwe, y’emu ku nsonga lwaki bonna benyigiddemu mu kulwanyisa Covid-19.
Pulezidenti Museveni era awadde ezimu ku nsonga lwaki yagenda mu nsiko ne banne.
Agamba nti, “ensonga eyatulwanya yali nkulu nnyo kubanga wetwakwatira obuyinza eby’enfuna by’eggwanga byaali bizitowa akawumbi kamu n’obukadde bina eza ddoola (1.4b) naye wetunatuukira mu gw’omusanvu tujja kuba tutuuse mu buwumbi bwa ddoola 44)”.
Mungeri y’emu agambye nti olwa Covid-19, ebyenfuna by’eggwanga byakosebwa nnyo.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=YNR3Bi_YyYo