SSENTE! Ebya Dr. Baterana tebinaggwa, ayimiriziddwa ku mirimu, obuyinza bugenze

©GALAXY

SSENTE! Ebya Dr. Baterana tebinaggwa, ayimiriziddwa ku mirimu, obuyinza bugenze. Daina Atwine amugobye mu offiisi, omusaala gutemeddwa


Wakati mu kulwanyisa obuli bw’enguzi mu ggwanga ssaako n’abantu abegumbulidde mu kubba ensimbi z’eggwanga lino, Poliisi eyimbudde Dr. Byarugaba Baterana, akulira eddwaaliro ekkulu e Mulago.

Dr. Baterana yakwatiddwa akawungeezi k’olunnaku Olwokubiri, akabondo akalondoola ebyobulamu okuva mu maka g’omukulembeze w’eggwanga lino nga bakulembeddwamu Dr. Warren Namara.

Oluvanyuma ng’akwattiddwa, yaguddwako emisango 4 omuli okweyambisa offiisi ye mu ngeri emenya amateeka, okwenyigira mu kubba ensimbi z’eggwanga, okufiiriza Gavumenti ssente n’okwenyigira mu kukyusa ebiwandiiko.

Mu bbanga lya myaka 4, afiiriza Gavumenti ssente Biriyoni 28 nga banne era y’emu ku nsonga lwaki baaakwattiddwa.

Wabula akawungeezi ka leero, Dr. Baterana ayimbuddwa kakalu ka Poliisi ng’alagiddwa okudda ku Poliisi okweyanjula nga 9, omwezi guno Ogwokusatu, nga ye sabiiti ejja ku Lwokusatu.

Okusinzira ku bannamateeka be nga bakulembeddwamu Jotham Mugalula, Dr. Baterana yakwattiddwa mu ngeri y’okuvvoola ekitibwa kye nga tebannaba kunoonyereza wadde okumwebuzaako.

Wadde ayimbuddwa, alagiddwa okudda ebbaali okuwa omwagaanya ebitongole ebiri mu kumunoonyerezaako, okola obulungi emirimu gyabyo.

Okusinzira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa nga kiteekeddwako omukono gw’omuteesiteesi omukulu mu minisitule y’eby’obulamu Dr. Diana Atwine, Dr. Baterana alagiddwa, obukulembeze bw’eddwaaliro ekkulu e Mulago, okubukwasa omumyuka we Dr. Rosemary Byanyima,  mbagirawo.

Ekiwandiiko kya Twine
Dr. Baterana alagiddwa okudda ebbali

Mu kiwandiiko, Dr. Baterana ategeezeddwa nti ku musaala gwe, ebbanga lyagenda okumala ng’aziddwa ebbaali, agenda kuba afuna kitundu.

Wabula munnamateeka we Mugalula agamba nti byonna ebikoleddwa, tebiri mateeka nga bakyamwetaaga ku ddwaaliro ekkulu e Mulago, okubalaga ebiwandiiko ku ssente ezogerwako, okubayambako mu kunoonyereza.

Mu Uganda, ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era Pulezidenti wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni agamba nti kati ye ssaawa okulwanyisa obuli bw’enguzi.
Pulezidenti Museveni avuddeyo emirundi omungi, okutegeeza eggwanga nti omuntu yenna singa yenyigira mu kubba ssente z’eggwanga, tewali kumuttira ku liiso.
Wabula bangi ku bannayuganda bagamba nti Pulezidenti Museveni alina okuvaayo okulaga ddala nti ali mu lutalo olw’okulwanyisa enguzzi mu ggwanga.
Abamu bagamba nti bangi ku bakulu mu Gavumenti abalya enguzi bali mu Gavumenti kyokka balya butaala n’okweyambisa ssente ezibiddwa mu Gavumenti, okwekulakulanya ng’abantu.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=TIDWlv7LBH8