VIDIYO! Ali Panda omu ku babbi attiddwa, akubiddwa amasasi, 4 bali mu maziga mu kaduukulu

©GALAXY

VIDIYO! Ali Panda omu ku babbi attiddwa, akubiddwa amasasi, 4 bali mu maziga mu kaduukulu, abalala 4 bakwattiddwa babitebye


Poliisi mu Kampala etubuulidde wetuuse mu kunoonyereza ku musajja Ali Panda eyattiddwa, mu kunoonya ababbi, abaludde nga beyambisa Pikipiki mu kubba abantu mu Kampala n’emirirwano.

Okunoonyereza, kulaga nti ababbi, beyambisa Pikipiki ne batomera abantu oluvanyuma ne batwala ebintu byabwe omuli amassimu, ssente, Laptop n’okubaleka nga bakubiddwa nga bali mu mbeera mbi.

Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, akabinja ka babbi abali ku Pikipiki, bebenyigidde mu kubba Dawit Kasa, omukungu ku kitebe kya Ethiopia mu Kampala nga 25, omwezi oguwedde Ogwokubiri 2020 ne batwala ensawo ye,  era vidiyo eraga Kasa engeri gye yabiddwamu n’okumusambasamba eri mu kutambula ku mikutu migatta bantu omuli Face Book, Twitter, WhatsApp n’emirala nga yalumbiddwa Pikipiki egisukka 10 okuli abasajja era abasukka 10.

Afande Luke

Poliisi egamba nti mu nsawo ya Kasa, baatutte amassimu agali mu ssente 2,800,000 ssaako ne Laptop ate nga baludde nga benyigira mu kubba abantu.

Mu kikwekweeto ekyakoleddwa abakesi n’ekitongole kya Poliisi ekirwanyisa abazigu b’emmundu akawungeezi k’olunnaku Olwokubiri  mu Kisenyi okumpi ne ppaaka za bbaasi eza Link, Ali Panda omu ku bazigu, yakubiddwa amasasi, bwe yabadde agezaako okulemesa okumukwata era yafudde, bamutwala mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okufuna obujanjabi.

Wabula Luke Owoyesigyire, agamba nti okunoonyereza, kulaga nti Ali Panda y’omu ku bazigu abaludde nga batigomya abantu mu Kampala omuli okubba, okutta abantu ssaako n’okutolosa abasibe 17 ku kitebe kya Poliisi e Jinja gye buvuddeko.

Luke Panda

Ali Panda wadde yattiddwa, abamu ku banne abaludde nga benyigira mu kubba, bali mikono gya Poliisi.

Bano bali 4 okuli Abdullamani Bakata amanyikiddwa nga Pancho, Nsubuga Emmanuel, Wanandya Agustine ne Muwanda Ivan.

Pancho y’omu ku bantu abaakola obulumbaganyi ku mulamuzi Gladys Kamasanyu mu Gwomunaana, 2021 bwe yali agenda ku ssomero lya  Green Hill Academy e Namuwongo ku ssaawa 5 ez’okumakya.

Omulamuzi Kamasanyu

Omulamuzi Kamasanyu yakosebwa mu bulumbaganyi obwo ne bamutwala mu ddwaaliro lya IHK e Namuwongo okufuna obujanjabi wabula ensawo omwali ebintu bye omuli amassimu, ebiwandiiko byonna byatwalibwa.

Owoyesigyire agamba nti okunoonya banaabwe kugenda mu maaso okutuusa nga bonna bakwattiddwa.

Vidiyo mu kubba Dawit Kasa

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=TIDWlv7LBH8