LAAVU! Omukazi ow’ethambi eryamyuka ayiiridde bba buto ku buliri lwa mukwano, omusekuzo yinki 4 guwonye

©GALAXY

LAAVU! Omukazi ow'ethambi eryamyuka ayiiridde bba buto ku buliri lwa mukwano, omusekuzo yinki 4 guwonye. Poliisi egamba omukyala akwattiddwa


Mu kiseera nga bannayuganda bakyakaaba olw’ebbeeyi y’ebintu ebyongedde okulinya omuli buto, nate Poliisi ekutte omukyala ku misango gy’okuyiira bba buto ayokya, olw’obutakaanya wakati waabwe.

Omukyala Eunice Kiiza ali mu gy’obukulu 30, omutuuze ku kyalo Bubanda mu ggoombolola y’e Bwijanga mu disitulikiti y’e Masindi yakwattiddwa ku by’okwokya bba Benard Achidri.

Kigambibwa akawungeezi k’olunnaku Olwokutaano, sabiiti ewedde nga 29, omwezi oguwedde Ogwokuna, omukyala Kiiza yatabukira bba nti asukkiridde obwenzi, olw’okuba ategeera ensonga z’okusinda omukwano nga buli mukyala ku kyalo amwegomba.

Mu kiro ku ssaawa nga 4, omukyala Kiiza, yalumba bba mu kisenge nga yebase, namwokya buto mu ffeesi, ekifuba, omutwe, obulago ssaako n’okusamukka obutondo mu bitundu by’ekyama.

Omusajja wadde yakuba enduulu, abatuuze ne baggya okutaasa, okumutwala mu ddwaaliro lya Bwijanga health center III ng’ali mu mbeera, omukyala Kiiza okuva olwo, abadde aliira ku nsiko.

Wabula Julius Hakiza, omwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo, agambye nti omukyala akwattiddwa era atwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Masindi.

Hakiza era agambye nti ebikolwa eby’abakyala okutulugunya abasajja byeyongedde, kwe kusaba abasajja okuvaayo okusinga okudda mu kusirika olw’okutya okuswala.

Ate Poliisi mu Nigeria eri mu kunoonya omugagga eyawadde omukyala ensimbi, embwa ze okumukozesa mu ngeri y’okusinda omukwano.

Mu Nigeria, vidiyo eyongedde okutambula ku mikutu migatta bantu omuli TikTok, ng’omuwala ate nga muwala muto ali mu kwegata n’embwa.

Mu vidiyo, omuwala agamba nti omugagga yamuwadde, 1,100,000 eza naira (N1.1 million) okwegadanga n’embwa ze.

Mungeri y’emu agamba nti olw’okunoonya ssente nga tezirabika, y’emu ku nsonga lwaki kyamwanguyidde, okusanyusa embwa z’omugagga.

Wabula Poliisi egamba nti erina okunoonya omugagga eyawadde omukyala ssente okwebaka n’embwa ze.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga eryo, Muyiwa Adejobi, Poliisi erina okunoonya omukyala ssaako n’omusajja omugagga nga kimenya mateeka omuntu yenna okusinda omukwano n’ekisolo mu nsi yaabwe.

Poliisi egamba nti singa emisango gibakka mu vvi, omukyala n’omugagga, bayinza okusibwa emyaka egisukka 14.

Wabula abamu ku bannansi be Nigeria, bagamba nti wadde omuwala munnansi we Nigeria, kiteeberezebwa nti omugagga, embwa ne vidiyo, tebyakoleddwa mu Nigeria munda.

Ebigenda mu maaso mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=45v4PLqcdeI&t=5s