AWO KALE! Omulamuzi awadde ensala ku Dr. Kizza Besigye, agobye obukadde 30

©GALAXY

Kkooti enkulu mu Kampala ekedde kendeza ku ssente, okuva ku bukadde 30 okudda ku bukadde 3, Dr. Col. Kizza Besigye zebaali baamusalira okweyimirirwa. Okusinzira ku mulamuzi Micheal Elubu, omulamuzi wa kkooti esookerwako ku Buganda Road Siena Owomugisha, okusaba Besigye obukadde 30, kyali kisukkiridde nnyo okusinzira ku musango gw’okukuma omuliro mu bantu ogwamugulwako. Besigye yakwatibwa nga […]


Kkooti enkulu mu Kampala ekedde kendeza ku ssente, okuva ku bukadde 30 okudda ku bukadde 3, Dr. Col. Kizza Besigye zebaali baamusalira okweyimirirwa.

Okusinzira ku mulamuzi Micheal Elubu, omulamuzi wa kkooti esookerwako ku Buganda Road Siena Owomugisha, okusaba Besigye obukadde 30, kyali kisukkiridde nnyo okusinzira ku musango gw’okukuma omuliro mu bantu ogwamugulwako.

Besigye yakwatibwa nga tumalako omwezi oguwedde nga 24, Ogwokutaano ku  Arua Park  mu Kampala, bwe yali akedde okuzukusa bannayuganda mu ngeri y’okwekalakaasa okubanja Gavumenti okendeza ku bbeeyi y’ebintu ebyongedde okulinya omuli sukaali, subaani, omuceere, buto n’ebirala.

Wabula mu kkooti ya Buganda Road, omulamuzi Owomugisha yamusaba ssente obukadde 30 okuyimbulwa, kwe kuddukira mu kkooti enkulu okuziwakanya.

Besigye ng’akulembeddwamu bannamateeka be, okuli Omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago, baddukira mu kkooti enkulu, okutuusa olunnaku olwaleero, omulamuzi Elubu, bw’akendezeza ku ssente okuva ku bukadde 30 okudda ku bukadde 3.